Jeremiah 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa muluŋŋamiza ddala amakubo gammwe, ne mugolola empisa zammwe, buli omu n'ayisa munne n'obwenkanya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe; era bwe munaalaganga obwenkanya eri omuntu ne munne,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe; bwe munaabeeranga abenkanya buli muntu eri munne;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukyuse empisa zammwe n'ebikolwa byammwe. Mube benkanya mu nkolagana ne bannammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe; bwe munaatuukiririzanga ddala emisango eri omuntu ne munne;