Jeremiah 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne mutanyigiriza mugwira, mulekwa ne nnamwandu, ne mutayiwa mu kifo kino musaayi gutaliiko musango, ne mutagoberera balubaale kwesombera mitawaana,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne mulekayo okunyigiriza omugwira, ne mulekwa, ne nnamwandu, ne mulekayo n’okutta abataliiko musango mu kifo ekyo, era ne mutasinza bakatonda abalala okwereetera emisango mmwe bennyini,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe mutaajoogenga mugenyi n'atalina kitaawe ne nnamwandu, so ne mutayiwa musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino, era bwe mutatambulenga kugobereranga bakatonda abalala, okwerumyanga mmwe bennyini;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulemenga okuyiikiriza abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu. Mulekere awo okuttanga abantu abatalina musango ab'omu ggwanga lino. Mulekere awo okusinzanga balubaale, kubanga okubasinza, kuba kwerumya mmwe mwennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe mutaajoogenga mugenyi n'atalina kitaawe ne nnamwandu, so temuuyiwenga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino, so temuutambulenga okugobereranga bakatonda abalala, okwerumyanga mmwe bennyini: