Jeremiah 8:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Mu budde obwo, Omukama agamba, amagumba ga bakabaka n'ag'abakungu ba Yuda, aga bakabona be n'ag'abalanzi be n'ag'abaali abatuuze b'omu Yeruzaalemu, galiggyibwa mu ntaana zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu kiseera ekyo, bw’ayogera Mukama, amagumba ga bakabaka ba Yuda, n’amagumba g’abalangira, n’amagumba ga bakabona, n’amagumba ga bannabbi, n’amagumba g’abatuuze b’omu Yerusaalemi galiggyibwa mu ntaana zaago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, amagumba ga bassekabaka ba Yuda, n'amagumba g'abakungu baabwe, n'amagumba ga bakabona, n'amagumba ga bannabbi, n'amagumba g'abantu abalala abali mu Yerusaalemi, baligaggya mu malaalo gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu biro ebyo amagumba ga bassekabaka n'ag'abakungu ba Buyudaaya, n'amagumba ga bakabona n'ag'abalanzi, n'ag'abantu abalala ab'omu Yerusaalemu, galiggyibwa mu ntaana zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, baliggya amagumba ga bassekabaka ba Yuda n'amagumba g'abakungu be n'amagumba ga bakabona n'amagumba ga bannabbi n'amagumba g'abo abali mu Yerusaalemi mu malaalo gaabwe.