Jeremiah 8:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo bakazi baabwe nzija kubafumbiza abasajja abalala, n'ennimiro zaabwe nziwe abalala bazitwale. Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu, bonna balulunkanira kufuna; abalanzi ne bakabona okwo, bonna balimbalimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bakazi baabwe ndibagabira abasajja abalala n’ennimiro zaabwe zitwalibwe abantu abalala. Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu, nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyendiva bakazi baabwe mbawa abalala, n'ennimiro zaabwe, ndiziwa abo abalizirya; kubanga buli muntu, omuto era n'omukulu, wa mululu, nnabbi era ne kabona, buli muntu alyazaamaanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakazi baabwe kyendiva mbagabira abasajja abalala, n'ennimiro zaabwe ne nziwa abantu abalala, kubanga bonna, ka babe bakulu oba bato, balulunkanira kufuna magoba mu bukumpanya. Wadde abalanzi ne bakabona, nabo balyazaamaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyendiva mbawa abalala bakazi baabwe n'ennimiro zaabwe eri abo abalizirya: kubanga buli muntu, omuto era n'omukulu, wa mululu, nnabbi era ne kabona, buli muntu alyazaamaanya.