Jeremiah 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiwundu by'abantu bange babinyigisa lusaago; beewoleza: “Ddembe, ddembe!” sso nga tewali ddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo, babikomya kungulu nga boogera nti, Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekiwundu eky'omuwala w'abantu bange, bakiwonyezza kungulu kwokka nga boogera nti, ‘Mirembe, mirembe;’ so nga tewali mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ebiwundu by'abantu bange, babiwonya kungulu kwokka, ne bagamba nti: ‘Byonna biri bulungi,’ sso nga tebiri bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bawonyezza ekiwundu eky'omuwala w'abantu bange kungulu kwokka nga boogera nti Mirembe, mirembe; so nga emirembe tewali.