Jeremiah 8:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baswala olw'ebikolwa byabwe ebyenyinyalwa? Nedda, tebaliimu nsonyi. Tebamanyi na kusonyiwala; kyebaliva bagwira mu abo abaligwa; balimeggebwa mu kadde ak'okubonerezebwa kwabwe, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve? Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde, so tebamanyi wadde okulimbalimba. Noolwekyo baligwira mu bagudde, balikka lwe balibonerezebwa,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baakwatibwa ensonyi bwe baamala okukola eky'omuzizo? Nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaayinza kuswala; kyebaliva bagwira mu abo abagwa, bwe ndibabonereza balimeggerwa ddala, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bange bwe baamala okukola ebyo byonna ebyenyinyalwa, baawulira okuswala? Nedda tebaawulira kuswala n'akatono. Tebakyakwatibwa nsonyi. Kyebaliva bagwira awamu n'abo abagwa. Bwe ndibabonereza, eyo ye eriba enkomerero yaabwe. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baakwatibwa ensonyi bwe baamala okukola eky'omuzizo? nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaayinza kumyusa amaaso: kyebaliva bagwa mu abo abagwa: mu biro mwe balijjirwa mwe balimeggerwa, bw'ayogera Mukama.