Jeremiah 8:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Nandyagadde okubanogako, Omukama y'agamba, naye ku mizabbibu tekuli bibala, ne ku mitiini tekuli ntontogolo, n'amakoola gawotose. N'olw'ekyo kye mbadde mbawadde kiribaggyibwako.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,” bw’ayogera Mukama. Tewaliba zabbibu, na mutiini, n’ebikoola byabwe biriwotoka. Bye mbawadde biribaggyibwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ndibakuŋŋaanya, bw'ayogera Mukama, ku muzabbibu tekuliba zabbibu, newakubadde ettiini ku mutiini, n'amalagala galiwotoka; n'ebintu bye nnabawa biribavaako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nayagala okukuŋŋaanya abantu bange, ng'omuntu bw'akuŋŋaanya by'akungula, naye bali ng'omuzabbibu ogutaliiko mizabbibu, n'omutiini ogutaliiko mitiini. N'ebikoola biwotose. Kale ne bye nabawa, biribaggyibwako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndibamalirawo ddala, bw'ayogera Mukama: ku muzabbibu tekuliba zabbibu, newakubadde ettiini ku mutiini, n'amalagala galiwotoka; n'ebintu bye nnabawa biribavaako.