Jeremiah 8:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lwaki tutuula obutuuzi? Mugire tukuŋŋaane tugende mu bibuga okuli ebigo, eyo gye tuba tusaanirawo; mbeera Omukama Katonda waffe atusalidde gwa kusaanawo. Atuwadde amazzi omuli obutwa tunywe, kubanga twayonoona ew'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza? Mukuŋŋaane. Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe tuzikiririre eyo. Mukama Katonda atuwaddeyo tuzikirire era atuwadde amazzi agalimu obutwa tuganywe, kubanga twonoonye mu maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki tutuula butuuzi? Mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera, tufiire eyo; kubanga Mukama Katonda waffe atuwaddeyo tufe, era atunywesezza amazzi ag'omususa, kubanga twayonoona Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ba Mukama bagamba nti: “Lwaki tutuula obutuuzi? Mukuŋŋaane, tugende tuyingire mu bibuga ebiriko ebigo, tufiire eyo, kubanga Mukama Katonda waffe atuwaddeyo tufe. Atuwadde amazzi agalimu obutwa tunywe kubanga twakola ebibi ne tumunyiiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekitutuuza obutuuza? mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera, tusirikire eyo: kubanga Mukama Katonda waffe atusirisizza, era atunywesezza amazzi ag'omususa, kubanga twayonoona Mukama. Twasuubira emirembe, naye ne wataba birungi ebyajja; twasuubira ebiro eby'okuwonyezebwamu, era, laba, okukeŋŋentererwa!