Jeremiah 8:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okufugula kw'embalaasi ze kuwulirwa okuva mu Daani; embalaasi ze bwe zikaaba ensi yonna ekankana. Zizze okuvunjaga ensi na buli kirimu, ekibuga na bonna abakisulamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani; ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi. Bajja okuzikiriza ensi ne byonna ebigirimu, ekibuga ne bonna abakibeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okufugula kw'embalaasi ze kuwuliddwa ng'oyima e Ddaani; olw'eddoboozi ery'okukaaba kw'ensolo ze ez'amaanyi ensi yonna ekankana; kubanga zizze, era ziridde ensi ne byonna ebigirimu; ekibuga n'abo abakituulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe baffe bamaze okutuuka mu kibuga ky'e Daani, tuwulira embalaasi zaabwe bwe zifugula. Bwe zikaaba, eddoboozi lyazo likankanya ensi. Bazze okuzikiriza ensi yaffe ne byonna ebigirimu, ekibuga kyaffe, n'abakibeeramu bonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okufugula kw'embalaasi ze kuwuliddwa ng'oyima e Ddaani: olw'eddoboozi ery'okukaaba kw'ensolo ze ez'amaanyi ensi yonna ekankana; kubanga zizze, era ziridde ensi ne byonna ebigirimu; ekibuga n'abo abakituulamu.