Jeremiah 8:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nzuuno nzija kubasindikamu emisota, amasalambwa agatasobola kugulikibwa galibabojja,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba, ndikusindikira emisota egy’obusagwa, amasalambwa g’otasobola kufuga, emisota egyo girikuluma,” bwayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga, laba, ndisindika mu mmwe emisota, amasalambwa, agatayinza kuvumulwa; era galibaluma,” bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mulabe, nsindika mu mmwe emisota, amasalambwa agatayinza kulogebwa, era galibaluma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, ndisindika emisota, amasalambwa, agatalogeka; era galibaluma, bw'ayogera Mukama.