Jeremiah 8:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wulira eddoboozi ly'okulaajana kw'abantu bange, kuva mu nsi ey'ewala nti: “Ddala Omukama takyali mu Siyoni? Kabaka we takyalimu?” “Lwaki bannyiiza n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale, n'ebibajje byabwe ebigwira omutali kantu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wuliriza okukaaba kw’abantu bange okuva mu nsi ey’ewala. “ Mukama taliimu mu Sayuuni? Kabaka we takyalimu?” “Lwaki bansunguwaza n’ebifaananyi byabwe, bakatonda abalala abatagasa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, eddoboozi ery'okwogerera waggulu okw'omuwala w'abantu bange eriva mu nsi eri ewala ennyo nti, “Mukama tali mu Sayuuni? Kabaka waakyo tali mu kyo?” “Lwaki bansosonkereza okunnyiiza n'e bifaananyi byammwe ebyole, ne bakatonda ab'amawanga?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wulira mu ggwanga lyonna abantu bwe bayoogaana! Baleekaana nti: “Mukama takyali mu Siyooni? Kabaka waakyo takyakirimu?” Mukama n'abaddamu nti: “Lwaki munsunguwaza nga musinza ebyo mwennyini bye mwekolera, nga muvuunamira balubaale?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, eddoboozi ery'okwogerera waggulu okw'omuwala w'abantu bange eriva mu nsi eri ewala ennyo nti Mukama tali mu Sayuuni? Kabaka waakyo tali mu kyo? Lwaki bo okunsunguwazanga n'ebifaananyi byabwe ebyole n'ebirerya ebiggya?