Jeremiah 8:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Galyanikibwa mu maaso g'enjuba, ag'omwezi n'ag'eggye lyonna ery'omu ggulu, ebyo bye baayagalanga era bye baaweerezanga, bye baagobereranga n'okwebuuzangako, era bye baavunnamiranga. Tegaliddamu kukuŋŋaanyizibwa yadde okuziikibwa, wazira galisuulibwa ng'obusa awo ku ttaka kungulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi n’emmunyeenye ez’omu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisasiro wansi ku ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale baligaaliirira mu maaso g'enjuba n'omwezi n'eggye lyonna ery'omu ggulu, bye baayagalanga, era bye baaweerezanga, era bye baagobereranga mu kutambula kwabwe, era bye baanoonyanga, era bye baasinzanga; tegalikuŋŋaanyizibwa so tegaliziikibwa; galiba nga obusa ku ttaka kungulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kifo ky'okugakuŋŋaanya ne gaziikibwa, galirekebwa kungulu ng'obusa. Baligaaliira mu maaso g'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye zonna ez'oku ggulu, abantu abo bye baayagalanga, era bye baaweerezanga, bye beebuuzangako era bye baasinzanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale baligaaliira mu maaso g'enjuba n'omwezi n'eggye lyonna ery'omu ggulu, bye baayagalanga, era bye baaweerezanga, era bye baagobereranga mu kutambula kwabwe, era bye baanoonyanga, era bye baasinzanga: tegalikuŋŋaanyizibwa so tegaliziikibwa; galiba busa ku maaso g'ettaka.