Jeremiah 8:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekiwundu ky'abantu bange nange nfumitiddwa; nkaaba, n'entiisa enkutte.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnumiziddwa olw’okulumizibwa kwa muwala wange. Nkaaba ne nzijula ennaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuwala w'abantu bange afumitiddwa ekiwundu, nange nfumitiddwa ekiwundu; nkungubaga era okusamaalirira kunkutte.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnumwa nnyo olw'abantu bange ababonaabona! Nnakuwadde era nnennyamidde!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuwala w'abantu bange afumitiddwa ekiwundu, nange nfumitiddwa ekiwundu: nzirugadde; okusamaalirira kunkutte.