Jeremiah 8:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaliba basigaddewo mu zzadde lino ebbi balyeyagaliza olumbe okusinga obulamu yonna eyo gye ndiba mbagobedde, Omukama w'Amagye y'agamba.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abantu b’ensi eno ennyonoonyi bw’etyo abalisigalawo, be ndiba nsasaanyizza mu mawanga, balyegomba okufa okusinga okuba abalamu,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abo bonna abafisseewo ku kika kino ekibi, n'abo bonna abasigalawo mu bifo bino gye nnabagobera, baalyagala okufa okusinga obulamu, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu ggwanga lino ebbi abawonyeewo yonna gye baabasaasaanyiza, balyagala okufa okusinga okuba abalamu. Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era okufa kulyagalibwa okusinga obulamu eri bonna abafisseewo abasigalawo ku kika kino ekibi, abasigalawo mu bifo byonna gye nnabagobera, bw'ayogera Mukama w'eggye.