Jeremiah 8:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Onoobagamba nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Abantu bwe bagwa, tebasituka? Omuntu bw'awaba, takomawo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bategeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Omuntu bw’agwa, tayimuka? Oba omuntu bw’ava mu kkubo ettuufu, takyusa n’adda?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era nate obagambanga nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Abantu baligwa ne batayimuka nate? Omuntu alikyama n'atadda?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'andagira okugamba abantu nti: “Abantu bwe bagwa, tebayimuka nate? Omuntu bw'awaba, n'ayisa ekkubo, tadda mabega?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate obagambanga nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Abantu baligwa ne batayimuka nate? omuntu alikyama n'atadda?