Jeremiah 8:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki abantu bano bawabye? Lwaki Yeruzaalemu awabidde ddala obutadda? Banyweredde ku bulimba, bagaanyi okudda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale lwaki abantu bange bano banvaako ne bagendera ddala?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale abantu bano ab'omu Yerusaalemi kiki ekibazzizza emabega nga baseeseetuka obutayosa? Banywezezza obulimba, bagaanyi okudda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mmwe abantu bange, lwaki bulijjo muwaba ne munvaako? Mwesiba ku bya bulimba ne mugaana okudda gye ndi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale abantu bano ab'omu Yerusaalemi kiki ekibazzizza ennyuma nga baseeseetuka obutayosa? banywezezza obulimba, bagaanyi okudda.