Jeremiah 8:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nategereza ne mpulira, naye teboogera kituufu; tewali yeenenya kibi kye, n'agamba nti: “Kiki kye nkoze?” Buli omu agoba kkubo lye, nga bw'olaba embalaasi eyeefubitika olutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nawuliriza n’obwegendereza naye tebayogera mazima; tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti, ‘Kiki kino kye nkoze?’ Buli muntu akwata kkubo lye ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nawuliriza n'obwegendereza, naye nga tewali ayogera bya mazima; tewali muntu yeenenya bubi bwe ng'ayogera nti, ‘Nkoze ki?’ Buli muntu yeeyongera kugenda mu maaso mu lugendo lwe ng'embalaasi efubutuka okugenda mu lutalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nawuliriza ne mpulira, naye temwayogera bya mazima. Tewali n'omu ku mmwe yeenenya bibi bye. Tewali yeebuuza nti: ‘Nkoze ki?’ Buli muntu yeeyongera kugenda mu maaso ng'embalaasi efubutuka okukaga mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nawuliriza ne mpulira, naye tebaayogera bya nsonga: tewali muntu eyeenenya obubi bwe ng'ayogera nti Nkoze ki? buli muntu akyukira mu lugendo lwe ng'embalaasi efubutukira mu lutalo.