Jeremiah 8:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde ssekanyolya ku ggulu amanyi ebiseera bye, n'ejjiba, akataayi ne ŋŋaali, ebiseera eby'okusenguka. Naye abantu bange tebamanyi mateeka ga Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga bimanyi ebiseera mwe bitambulira; ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya bimanyi ebiseera mwe bikomerawo, naye abantu bange tebamanyi biragiro bya Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, kasida ow'omu ggulu amanyi ebiseera bye ebyalagirwa; ne kaamukuukulu n'akataayi ne ssekanyolya zirabirira ekiseera mwe zijjira; naye abantu bange tebamanyi kiragiro kya Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wadde ne bissekanyolya bimanya ekiseera eky'okuddiramu. Enjiibwa n'obutaayi ne nnamunye bimanya ekiseera eky'okusengukiramu. Naye abantu bange tebamanyi mateeka Nze Mukama ge mbafugirako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, kasida ow'omu ggulu amanyi ebiseera bye ebyalagirwa; ne kaamukuukulu n'akataayi ne ssekanyolya zirabirira ekiseera mwe zijjira; naye abantu bange tebamanyi kiragiro kya Mukama.