Jeremiah 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagezi ensonyi ziribakwata; balitekemuka ne bakwatibwa. Baamala okusuula eri Ekigambo ky'Omukama, bakyalina magezi ki?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa era balitwalibwa. Bagaanyi ekigambo kya Mukama, magezi ki ge balina?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abagezigezi bakwatiddwa ensonyi, bakeŋŋentererwa, bawambiddwa, laba, bagaanyi ekigambo kya Mukama; era magezi ki agali mu bo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagezi baswazibwa, bakwatibwa mu bigambo ne basekererwa. Nga bwe bagaanye ebigambo byange, magezi ki ge balina?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abagezigezi bakwatiddwa ensonyi, bakeŋŋentererwa, bawambiddwa: laba, bagaanyi ekigambo kya Mukama; era magezi ki agali mu bo?