Jeremiah 9:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa nno mu ddungu nalinayo omugiini gw'abatambuze, nandirese abantu bange, ne mbaviira! Kubanga, bonna benzi, bbiina ly'abalimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Woowe, singa omutwe gwange gubadde mugga n’amaaso gange luzzi lwa maziga, nnandikaabye emisana n’ekiro olw’abantu bange be batta!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutwe gwange singa gubadde mazzi, n'amaaso gange singa luzzi lwa maziga, nnandikaabidenga emisana n'ekiro abo abattiddwa ab'omuwala w'abantu bange!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa omutwe gwange kidiba kya mazzi, nga n'amaaso gange luzzi lwa maziga, ne nkaaba ekiro n'emisana olw'abantu bange abattiddwa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutwe gwange singa gubadde mazzi, n'amaaso gange singa luzzi lwa maziga, nkaabirenga emisana n'ekiro abo abattiddwa ab'omuwala w'abantu bange!