Jeremiah 9:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yeruzaalemu ŋŋenda kumufuula ntuumu ya mayinja, kisulo kya bibe; ebibuga bya Yuda ndibifuula matongo, omutali asulamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikaaba ne nkungubagira ensozi era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu. Galekeddwa awo era tegayitwamu, n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa. Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tandika okukaaba amaziga n'okukungubagira ensozi, n'okwesaasaabaga olw'amalundiro ag'omu ddungu, kubanga gookeddwa, ne wataba agayitamu; so n'abantu tebakyawulira kuŋooŋa kwa nte; ennyonyi ez'omu bbanga era n'ensolo zidduse, zigenze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba nti: “Nja kukaaba amaziga nga nkungubagira ensozi n'amalundiro, kubanga gakaze. Tewakyali agayitamu. Okuŋooŋa kw'ente tekukyawulirwa. Ebinyonyi n'ebisolo bidduse, bigenze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nditanula okukaaba amaziga n'okukungubaga olw'ensozi, n'okwesaasaabaga olw'amalundiro ag'omu ddungu, kubanga gookeddwa, ne wataba ayitamu; so n'abantu tebawulira kuŋooŋa kwa nte; ennyonyi ez'omu bbanga era n'ensolo zidduse, zigenze.