Jeremiah 9:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani oyo omugezi ekimala okutegeera bino? Aluwa oyo akamwa k'Omukama gwe kalagidde alangirire? Lwaki ensi ezikiridde, ebabuddwa, esiridde ng'eddungu omutakyasobola kuyita muntu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu, ekisulo ky’ebibe. Era ndyonoona ebibuga bya Yuda waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndifuula Yerusaalemi okuba ebifunvu, ekisulo eky'ebibe; era ndifuula ebibuga bya Yuda okuba amatongo awatali abituulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ndifuula Yerusaalemu entuumu y'ebisasiro, era ekisulo ky'ebibe. Ebibuga by'omu Buyudaaya birifuuka matongo, nga tewakyali abibeeramu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndifuula Yerusaalemi okuba ebifunvu, ekisulo eky'ebibe; era ndifuula ebibuga bya Yuda okuba amatongo awatali abituulamu.