Jeremiah 9:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba nti: “Kubanga balese Etteeka lyange lye nabateerawo, tebaawulira ddoboozi lyange, tebaaligoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gw’abuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musajja ki omugezigezi ayinza okutegeera kino? Era ani oyo akamwa ka Mukama gwe koogedde naye, akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese n'eba nkalu ng'eddungu, ne wataba ayitamu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbuuza nti: “Mukama, lwaki ensi eyonoonese n'eba nkalu ng'eddungu, ne wataba agiyitamu? Ani omugezi ategeera kino? Ani gw'okitegeezezza akinnyonnyole abalala?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugezigezi ye ani ayinza okutegeera kino? era ani oyo akamwa ka Mukama gwe koogedde naye, akinnyonnyole? ensi ebulidde ki n'eggya ng'eddungu, ne wataba ayitamu?