Jeremiah 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula baagoberera obukakanyavu bw'omutima gwabwe, baagoberera Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama ayogera nti, “Kubanga balese amateeka gange ge nnateeka mu maaso gaabwe so tebagondedde ddoboozi lyange so tebatambulidde mu go;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'addamu nti: “Ekyo kiri bwe kityo, kubanga bavudde ku mateeka gange ge nabateerawo. Tebawulidde era tebakoledde ku bye nabagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama ayogera nti Kubanga balese amateeka gange ge nnateeka mu maaso gaabwe so tebagondedde ddoboozi lyange so tebatambulidde omwo;