Jeremiah 9:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kyava agamba nti: “Abantu bano ŋŋenda kubaliisa omususa, mbanywese n'amazzi agalimu obutwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye, bagoberedde obukakanyavu bw’emitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ne batambula ng'obukakanyavu obw'omutima gwabwe, era ne bagoberera Babaali, nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bakakanyazizza emitima gyabwe, ne bagoberera lubaale Baali, bajjajjaabwe gwe baabayigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ne batambula ng'obukakanyavu bwe buli obw'omutima gwabwe bo n'okugoberera Babaali bajjajjaabwe be baabayigiriza: