Jeremiah 9:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibasaasaanyiza mu mawanga, bo ne bajjajjaabwe ge batamanyangako, ndibawondera n'ekitala okutuusa nga mbawemmense.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Laba ndiriisa abantu bano emmere ekaawa ne mbanyweesa n’amazzi ag’obutwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndibaliisa abantu bano abusinso ne mbanywesa amazzi ag'omususa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, kyenva ŋŋamba nti: abantu bano ndibaliisa ebimera ebikaawa, era ndibanywesa amazzi agakaawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibaliisa abantu bano abusinso ne mbanywesa amazzi ag'omususa: