Jeremiah 9:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: “Mukirowoozeeko; muyite abakazi abayimbi b'ennyimba ez'okukungubaga, bajje. Mutumye abasingamu obukugu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibasaasaanya mu mawanga bakitaabwe ge bataamanya; era ndibasindiikiriza n’ekitala, okutuusa nga mbazikirizza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibasaasaanyiza mu mawanga, ge batamanyanga bo newakubadde bajjajjaabwe, era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndimalira ddala okubazikiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibasaasaanyiza mu mawanga bo bennyini ne bajjajjaabwe ge batamanyangako, era ndisindika amagye okubalwanyisa okutuusa lwe ndibazikiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibasaasaanyiza mu mawanga, ge batamanyanga bo newakubadde bajjajjaabwe: era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndimala okubazikiriza.