Jeremiah 9:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temanga emiranga gy'okulira giwuliddwa mu Siyoni nti: ‘Nga batuvunjaze! Nga tuswadde nnyo! Ensi eno tulina okugireka, kubanga amayumba gaffe gamenyeddwawo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Leka bajje mangu batukaabireko okutuusa amaaso gaffe lwe ganaakulukuta amaziga, n’obukoowekoowe bwaffe ne butiiriika amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era banguwe batanule okutukubira ebiwoobe, amaaso gaffe gakulukute amaziga, n'ebikowe byaffe bitiiriike amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne bagamba nti: “Banguwe batukubire ebiwoobe, tukaabe nnyo amaaso gatobe amaziga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era banguwe batanule okutukubira ebiwoobe, amaaso gaffe gakulukute amaziga, n'ebikowe byaffe bitiiriike amazzi.