Jeremiah 9:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakyala, muwulire ekigambo ky'Omukama; amatu gammwe mugaggulire ekigambo ky'akamwa ke. Muyigirize bawala bammwe okuwanjaga, na buli omu ayigirize munne oluyimba olw'okukungubaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga amaloboozi ag’okukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni; ‘Nga tunyagiddwa! Nga tuswadde nnyo! Tuteekwa okuva mu nsi yaffe kubanga amayumba gaffe gazikiriziddwa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga eddoboozi ery'ebiwoobe liwulirwa nga liva mu Sayuuni nti, ‘Nga tuzikiridde! tuswadde nnyo, kubanga twaleka ensi, kubanga basudde ennyumba zaffe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eddoboozi liwulirwa nga lyogerera mu Siyooni nti: “Tuzikiridde! Tuswadde nnyo! Tuvudde mu nsi yaffe, amayumba gaffe gamenyeddwawo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga eddoboozi ery'ebiwoobe liwulirwa nga liva mu Sayuuni nti Nga tunyagiddwa! tuswadde nnyo, kubanga twaleka ensi, kubanga basudde ennyumba zaffe.