Jeremiah 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olulimi lwabwe lweweta ng'omutego gw'akasaale bawandule obulimba, si mazima ge gabafudde ab'amaanyi, bulimba bwe bujjudde mu nsi, si mazima; bwe bata ekibi kino ne bakwata kiri, naye nze tebammanyi, Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Woowe singa mbadde n’ekisulo ky’abatambuze mu ddungu, nnandivudde ku bantu bange ne mbaleka kubanga bonna benzi, bibiina by’abasajja ab’enkwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa mbadde n'ekisulo eky'abatambuze mu ddungu; n'andirese abantu bange ne mbavaako! kubanga bonna benzi, kye kibiina eky'abasajja ab'enkwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa mbadde n'akafo akabeerekamu mu ddungu, nandivudde mu bantu bange ne ŋŋenda mbeera eyo, kubanga bonna tebeesigwa, kibiina ky'abantu ab'enkwe!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Singa mbadde n'ekisulo eky'abatambuze mu ddungu; ndeke abantu bange mbaveeko! kubanga bonna benzi, ekibiina eky'abasajja ab'enkwe.