Jeremiah 9:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga olumbe luyitidde mu madirisa gaffe, luyingidde mu bigo byaffe. Lukutuddeko abaana mu nguudo, n'abavubuka mu mpya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda, era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo ky’akamwa ke. Muyigirize bawala bammwe okukaaba, era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakazi, n'okutu kwammwe kukkirize ekigambo eky'omu kamwa ke, muyigirize abawala bammwe okukuba ebiwoobe, na buli muntu ayigirize munne okukungubaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba nti: “Mwe abakazi muwulire ekigambo kya Mukama, mutegereze ky'agamba. Muyigirize bawala bammwe okukuba ebiwoobe ne bannammwe, okukungubaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakazi, n'okutu kwammwe kukkirize ekigambo eky'omu kamwa ke, muyigirize abawala bammwe okukuba ebiwoobe, na buli muntu ayigirize munne okukungubaga.