Jeremiah 9:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Emirambo gy'abantu gisaasaanye ng'obusa ku ttale, era ng'emiganda emabega w'akesa, awatali agikuŋŋaanya.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okufa kutuyingiridde mu madirisa, kuyingidde mu mbiri zaffe, okugoba abaana okubaggya ku nguudo, n’abavubuka okubaggya mu bifo ebisanyukirwamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okufa kulinnye ne kuyita mu madirisa gaffe, era kuyingidde mu mayu gaffe; okumalawo abaana mu bibuga, n'abalenzi mu nguudo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okufa kuyitidde mu madirisa gaffe, ne kuyingira mu nju zaffe. Kusanjaze abaana mu nguudo, n'abavubuka mu bifo ebya lukale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okufa kulinnye mu bituli byaffe, kuyingidde mu mayu gaffe; okumalawo abaana ebweru, n'abalenzi mu nguudo.