Jeremiah 9:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Omugezi aleme kwetenda olw'amagezi ge, ow'amaanyi aleke kwetenda olw'amaanyi ge, n'omugagga okwetenda olw'obugagga bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yogera,” bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “ ‘Emirambo gy’abasajja abafudde gijja kugwa ng’obusa ku ttale ng’ebinywa by’eŋŋaano ensale bwe bigwa emabega w’omukunguzi nga tebiriiko alonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwogere nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Emirambo gy'abasajja girigwa ng'obusa ku ttale ebweru, era ng'ekinywa ekiri emabega w'omukunguzi, so tewaliba agikuŋŋaanya.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emirambo gy'abantu gisuulibwa ng'entuumu y'obusa mu nnimiro. Giriba ng'ebinywa by'eŋŋaano ebirekeddwawo abakunguzi, ne wataba abiggyawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Emirambo gy'abasajja girigwa ng'obusa ku ttale ebweru, era ng'ekinywa ekiri ennyuma w'omukunguzi, so tewaliba aligironda.