Jeremiah 9:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wazira eyeetenda, yeetendere mu kino: Okutegeera n'okumanya nti nze Mukama alaga ekisa, obutuufu n'obutuukirivu ku nsi; kubanga mu ebyo mwe nsanyukira,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge, oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge oba omugagga mu bugagga bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama” nti, “Omusajja omugezigezi teyeenyumirizanga olw'amagezi ge, so n'ow'amaanyi teyeenyumirizanga olw'amaanyi ge, so n'omugagga teyeenyumirizanga olw'obugagga bwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abagezi baleme kwenyumiriza olw'amagezi gaabwe, n'ab'amaanyi olw'amaanyi gaabwe, wadde abagagga olw'obugagga bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Omugezigezi teyeenyumirizanga olw'amagezi ge, so n'ow'amaanyi teyeenyumirizanga olw'amaanyi ge so n'omugagga teyeenyumirizanga olw'obugagga bwe: