Jeremiah 9:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “lwe nnaabonereza abo bonna abaatayirirwa mu mubiri gwokka
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino: nti antegeera era ammanyi, nti nze Mukama akola ebyekisa n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi, kubanga mu byo mwe nsanyukira,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga olwa kino, ng'ategeera era ng'amanyi nze nga ndi Mukama akola eby'ekisa n'eby'ensonga n'eby'obutuukirivu mu nsi; kubanga ebyo bye nsanyukira, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye buli eyeenyumiriza yeenyumirizenga olw'okumanya n'okutegeera nga ndi Mukama, akola ku nsi eby'ekisa, n'eby'obwenkanya n'ebituufu, kubanga ebyo bye binsanyusa. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga olwa kino, ng'ategeera era ng'amanyi nze nga ndi Mukama akola eby'ekisa n'eby'ensonga n'eby'obutuukirivu mu nsi: kubanga ebyo bye nsanyukira, bw'ayogera Mukama.