Jeremiah 9:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu Misiri, Yuda, Edomu, Ammoni, Mowabu na bonna abakomola enviiri mu bwenyi ababeera mu ddungu. Kubanga amawanga gano gonna si matayirire, n'ennyumba ya Yisirayeli yonna si ntayirire mu mutima.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza abo bonna abakomole obukomozi mu mubiri:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndibonereza abo bonna abakomolwa naye nga beeyisa nga abatakomolwanga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ekiseera kijja kutuuka, mbonereze bonna abakomole abeeyisa ng'abatali bakomole:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndibonereza abo bonna abakomolwa mu butakomolwa bwabwe.