Jeremiah 9:26 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Misiri, Yuda, Edomu, n'abaana ba Amoni ne Mowaabu ne bonna abamwa oluge ku nviiri zaabwe, ababeera mu ddungu; kubanga amawanga gonna si makomole, n'ennyumba yonna eya Isiraeri si bakomole mu mutima gwabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ab'omu Misiri n'ab'omu Buyudaaya; ab'e Edomu n'ab'e Ammoni; ab'e Mowaabu n'ab'omu ddungu, abakomola ku nviiri zaabwe. Ab'amawanga ago gonna si bakomole. N'ab'eggwanga lyonna erya Yisirayeli, beeyisa ng'abatali bakomole.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Misiri ne Yuda ne Edomu n'abaana ba Amoni ne Mowaabu ne bonna abamwa oluge, ababeera mu ddungu: kubanga amawanga gonna si makomole, n'ennyumba yonna eya Isiraeri si bakomole mu mutima gwabwe.