Jeremiah 9:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Buli omu yeekuume munne, teweesiga muganda wo, kubanga buli wa luganda mulimba, na buli wa mukwano agenda akonjera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bategeka olulimi lwabwe ng’omutego ogunasula obulimba; bakulaakulanye mu ggwanga naye nga tebayimiridde ku mazima, kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala; era tebammanyi,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baweta olulimi lwabwe ng'omutego, okulimba so si mazima kweyongera amaanyi mu nsi, kubanga bava mu bubi ne beeyongera mu bubi, so tebammanyi, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bulijjo beetegefu okulimba. Si mazima wabula bulimba bwe bufuga mu ggwanga. Mukama agamba nti: “Abantu bange beeyongera kukola bibi, era tebammanyi Nze!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era banaanuula olulimi lwabwe ng'omutego gwabwe olw'okulimba; era bafuuse ba maanyi mu nsi, naye si lwa mazima: kubanga baava mu bubi okweyongera mu bubi, so tebammanyi nze, bw'ayogera Mukama.