Jeremiah 9:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu alimba munne, tewali ayogera mazima; ennimi zaabwe baazimanyiiza kulimba; beekooyezza n'okwonoona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwegendereze mikwano gyammwe era temwesiganga baganda bammwe: kubanga buli wa luganda mulimba na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu yeekuumenga muntu munne, so temwesiganga wa luganda yenna; kubanga buli waluganda yeefuulira muganda we, na buli muntu atambulatambula ng'awaayiriza munne.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu yeekuume munne, tewaba yeesiga muganda we, kubanga buli waaluganda yeefuukira muganda we, era buli muntu awaayiriza mikwano gye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwekuumenga buli muntu munne, so temwesiganga wa luganda yenna: kubanga buli ow'oluganda aliriira ddala muganda we, na buli munne alitambulatambula ng'awaayiriza.