Jeremiah 9:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bavuyira mu bulimba bwereere; mu bulimba bwabwe tebeefiirayo na kummanya,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu alimba muliraanwa we era tewali n’omu ayogera mazima. Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu alimba muntu munne, era tewali n'omu ayogera mazima; bayigirizza olulimi lwabwe okwogera eby'obulimba; bakola ebitali bya butuukirivu, beekooya tebagala kwenenya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era balimbagana, tewali ayogera mazima. Beeyigirizza okulimba, era tebalekaayo kwonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balirimba buli muntu munne, so tebalyogera bya mazima: bayigirizza olulimi lwabwe okwogera eby'obulimba; beekooya nga bakola ebitali bya butuukirivu.