Jeremiah 9:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo, Omukama w'Amagye kino ky'agamba: “Nzuuno, nzija kufukuta, mbageze, ggwe ate kirala ki kye nnaakola olw'ekibi ky'abantu bange?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mubeera wakati mu bulimba; mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batuuma okunyigiriza ku kunyigiriza, obulimba ku bulimba; bagaana okummanya, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Beeyongera kukola bya bukambwe, na kwogera bya bulimba. Mukama agamba nti: bagaanye okumumanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekifo ky'obeeramu kiri wakati mu bulimba; olw'obulimba kyebava bagaana okummanya, bw'ayogera Mukama.