Jeremiah 9:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olulimi lwabwe, kasaale kassi, bye lwogera, bulimba busa; n'akamwa kaabwe buli omu yeeyogeza bya mirembe, sso nga mu mutima gwe amutega mitego.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa, kiki ate kye nnaakolera abantu bange kubanga boonoonye?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti, “Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa; kubanga nnandikoze ntya olw'omuwala w'abantu bange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye kyava agamba nti: “Ndibasaanuusa ng'ekyuma, ne mbageza. Kale mbakole ntya, abantu bange?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibasaanuusa ne mbakema; kubanga nandikoze ntya olw'omuwala w'abantu bange?