Jeremiah 9:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnyinza obutababonereza olw'ebikolwa bino?” Omukama y'agamba, “nnyinza obutawoolera ggwanga ku bantu nga bano?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olulimi lwabwe kasaale akatta, lwogera bya bulimba, buli muntu ayogeza mirembe n’akamwa ke, naye mu mutima gwe ategeka kumutega.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olulimi lwabwe kasaale akatta; lwogera eby'obulimba, buli omu ayogera ne munne eby'emirembe n'akamwa ke, naye ate amuteega mu mutima gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olulimi lwabwe, ke kasaale akatta. Lwogera bya bulimba. Buli omu ayogera bya mirembe ne munne, kyokka ng'ategeka kumutega mutego.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olulimi lwabwe kasaale akatta; lwogera eby'obulimba: wabaawo ayogera ne munne eby'emirembe n'akamwa ke, naye amuteega mu mutima gwe.