Job 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewamwetoolooza olukomera, ye n'ennyumba ye n'ebintu bye byonna? Wawa omukisa emikono gye bye gyakola, eby'obugagga bye ne byeyongera mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tomukozeeko lukomera ye n’ennyumba ye, n’eby’obugagga by’alina? Buli ky’akola okiwadde omukisa; n’eby’obugagga bye byeyongedde nnyo obungi!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tomusizaako lukomera okumwetooloola, ye n'ennyumba ye, ne byonna by'alina? Owadde omukisa byonna byakola, n'ebintu bye byaze mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukoledde olukomera okumwetooloola, ye n'amaka ge, n'ebibye byonna by'alina. By'akola obiwadde omukisa, n'obugagga bwe bweyongedde obungi mu nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tomukomedde lukomera okumwetooloola ye n'ennyumba ye ne byonna by'alina, enjuyi zonna? owadde omukisa omulimu gw'engalo ze, n'ebintu bye byaze mu nsi: