Job 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Sitaani nti: “Kale byonna by'alina biri mu buyinza bwo, kyokka ye tomukola kabi.” Sitaani n'ava mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Byonna by’alina biri mu mikono gyo, naye togeza n’okwata ku bulamu bwe.” Oluvannyuma lw’ebyo Setaani n’ava mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Setaani nti, “Kale byonna by'alina biri mu buyinza bwo, kyokka ye yennyini tomukolako kabi.” Awo Setaani n'ava mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Sitaani nti: “Kale byonna by'alina, biri mu buyinza bwo. Kyokka ye tomukolako kabi.” Awo Sitaani n'ava mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Setaani nti Laba, byonna by'alina biri mu mukono gwo; kyokka ku ye yennyini togolola mukono gwo, Awo Setaani n'ava awali Mukama.