Job 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwatuuka, batabani ba Yobu ne bawala be baali balya nga bwe banywa omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olunaku lumu, batabani ba Yobu ne bawala be bwe baali banywa omwenge era nga baliira ebyassava mu maka ga mukulu waabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olunaku lwali lumu batabani be ne bawala, be bwe baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olunaku lwali lumu, batabani ba Yobu ne bawala be, bwe baali nga baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaku lwali lumu batabani be ne bawala be bwe, baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,