Job 1:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo aba akyayogera, omubaka omulala n'ajja, n'agamba nti: “Omuliro gwa Katonda gwavudde mu ggulu ne gwokya endiga ne gusenkenya n'abaweereza, nze nzekka nze mponyeewo nzije nkubuulire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo aba akyayogera ebyo, laba, omubaka omulala n’atuuka naye n’amugamba nti, “Omuliro gubuubuuse nga guva mu ggulu ne gusaanyaawo endiga zonna n’abasumba baazo, nze nsigaddewo nzekka okukutegeeza bino.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, n'amugamba nti, “Omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, era gwokezza endiga n'abaddu ne gubazikiriza. Era nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, n'agamba nti: “Omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, ne gwokya endiga n'ababadde bazirunda, ne gubazikiriza. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, era gwokezza endiga n'abaddu ne gubazikiriza; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira.