Job 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'oyo aba akyayogera, omubaka omulala n'ajja, n'agamba nti: “Abakaludeya baakoze ebibinja bisatu, ne bayiikira eŋŋamiya ne bazitwala n'abaweereza ne babatta n'ekitala, nze nzekka nze mponyeewo nzije nkubuulire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oyo aba akyayogera, n’omubaka omulala n’atuuka, n’agamba nti, “Abakaludaaya bazze nga beetegese mu bibinja bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira ne bazitwala era ne batta n’abaddu ababadde bazirabirira, era nze nzekka nze nsigaddewo okujja okukumanyisa bino.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, naye n'amugamba nti, “Abakaludaaya, nga beegabanyizzamu ebibinja bisatu, bazinze ŋŋamira, era bazitutte. Basse abaddu ne kitala, nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali ng'akyayogera, omulala n'agamba nti: “Abakaludaaya, nga beegabanyizzaamu ebibinja bisatu, bazinze eŋŋamiya, ne bazinyaga. Ne bakozesa ebitala, ne batta abaweereza bo. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti Abakaludaaya beefudde ebibiina bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira, era bazitutte, weewaawo, era basse abaddu n'obwogi bw'ekitala; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira: