Job 1:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'oyo aba akyayogera, omubaka omulala n'ajja, n'agamba nti: “Batabani bo ne bawala bo baabadde balya nga banywa omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aba akyayogera, laba, n’omulala n’ajja n’amugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya mukulu waabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, n'amugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja n'agamba nti: “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti Batabani bo ne bawala bo baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu: