Job 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amangu ago kibuyaga ow'amaanyi n'afuluma ku ludda lw'eddungu n'ayuuguumya ensonda ennya ez'ennyumba, n'ebagwira ne bafa, nze nzekka nze mponyeewo nzije nkubuulire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
laba, omuyaga ogw’amaanyi guvudde mu ddungu ne gugoyaagoya ennyumba yonna mwe babadde era bonna bafiiriddemu nze mponyeewo nzekka okujja okukubikira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omuyaga ogw'amaanyi ne guva mu ddungu, ne gukuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'ebagwako, era bafudde, nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omuyaga ogw'amaanyi ne guva mu ddungu, ne gukuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'ebagwako, era bafudde. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale, laba, embuyaga nnyingi ne zijja nga ziva mu ddungu, ne zikuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'egwa ku balenzi, era bafudde; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira: